1 Kings 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Baasa abaliba bafiiridde mu kibuga embwa zigenda kubakavvula, ate abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi eby'omu bbanga biribalya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna owa Baasa bw’alifiira mu kibuga, omulambo gwe guliriibwa embwa, n’abo abalifiira ku ttale, ennyonyi ez’omu bbanga zirirya emirambo gyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'omu nnyumba ya Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owuwo, ggwe Baasa, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owa Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyoni ez'omu bbanga zinaamulyanga.