1 Kings 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ekigambo ky'Omukama, nga kiyita mu Yewu mutabani wa Kanani omulanzi, ne kijja eri Baasa n'ennyumba ye olw'okubeera ebisobyo bye yali akoze mu maaso g'Omukama, n'amunyiiza olw'ebyo bye yakola, n'olw'okufuuka ng'ennyumba ya Yerobowamu, ate n'olw'okubeera nga yali agizikirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Mukama ne kituukirira, ekyajjira Yeeku mutabani wa Kanani ekikwata ku Baasa n’ennyumba ye olw’ebibi bye yakola mu maaso ga Mukama, ng’amusunguwaza olw’ebyo bye yakola, n’olw’okwonoona ng’afaanana ennyumba ya Yerobowaamu, ate era n’olw’okuba nga yagisaanyaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kya Mukama nate ne kijjira nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Yeeku ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'olw'emirimu gy'emikono gye ng'afaanana n'ennyumba ya Yerobowaamu gye yazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala Mukama yayogera ng'ayita mu mulanzi Yeehu mutabani wa Hanani, n'avumirira Baasa n'ab'ennyumba ye, olw'ebibi byonna Baasa bye yakola n'anyiiza Mukama. Yasunguwaza Mukama, si lwa bibi bye byokka bye yakola, nga Yerobowaamu, wabula n'olw'okutta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba.