1 Kings 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda, Ela mutabani wa Baasa n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Tiruza; yafugira emyaka ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n’afuuka kabaka wa Isirayiri; n’afugira mu Tiruza emyaka ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'abiri mu mukaaga (26) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n'atandika okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omukaaga nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ela mutabani wa Baasa n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Tiruza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu mukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda Era mutabani wa Baasa n'atanula okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.