1 Kings 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimuri, omu ku baweereza be, omugabe w'ekitundu ekyokubiri eky'ebigaali bye, yamwekobera. Olumu Ela yali mu Tiruza, ng'anywedde atamidde mu nnyumba ya Aruza katikkiro w'olubiri mu Tiruza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Zimuli, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekitundu ky’amagaali ge, n’amukolera olukwe. Mu kiseera ekyo Era yali Tiruza, ng’atamiirira mu maka ga Aluza, omusajja eyavunaanyizibwanga olubiri lw’e Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amusalira olukwe: era yali Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali ssaabakaaki mu Tiruza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zimuri, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekimu ekyokubiri eky'amagaali ge, n'amwekobera. Lumu, Ela bwe yali ng'anywa omwenge, n'atamiirira mu maka ga Aruza eyali omukuumi w'olubiri lw'e Tiruza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza: