1 Kings 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya Omutisube ow'e Tisube mu Gileyaadi yagamba Akabu nti: “ Mazima Omukama nga mulamu, Katonda wa Yisirayeli gwe mpeereza, mu myaka gino teebe musulo gugwa yadde enkuba, mpozzi nga nze ndagidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi, n’agamba Akabu nti, “ Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya Omutisubi, eyaatulanga e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gw'empeereza, tewajja kuba musulo wadde enkuba, okumala emyaka okutuusa lwendiragira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo Eliya ow'e Tisube, omu ku batuuze b'e Gileyaadi, n'agamba Kabaka Ahabu nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era Katonda omulamu gwe nsinza: tewaabenga musulo wadde enkuba mu myaka gino, wabula nga ŋŋambye nti bibeewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino, wabula ng'ekigambo kyange bwe kiri.