1 Kings 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asituka, n'agenda e Zarefati. Bwe yatuuka ku mulyango gw'ekibuga, waaliwo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku, n'amuyita n'agamba nti: “Mpaayo ku mazzi mu nsumbi nnyweko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agolokoka n’alaga e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku wankaaki w’ekibuga, waliwo nnamwandu eyali alondalonda obuku. Eriya n’amusaba ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi matono mu kibya nnyweko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'asituka n'agenda e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eriya n'amuyita, n'agamba nti Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'asituka, n'agenda e Zarefaati. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eliya n'amuyita, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agolokoka n'agenda e Zalefaasi: awo bwe yatuuka ku wankaaki w'ekibuga, laba, omukazi nnamwandu ng'ali eyo ng'alonda enku: n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, nkimira otuzzi mu kibya, nnywe.