1 Kings 17:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali agenda okugaleeta, n'amukoowoola ng'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndeeteraayo ne ku kitundu ky'omugaati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali ng’agenda okugakima, Eriya n’amukoowoola ng’agamba nti, “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’omugaati.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'agenda okugaleeta, n'amuyita nate, n'amugamba nti Ndeeterayo n'akagaati ndyeeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi bwe yali ng'agenda okugaleeta, Eliya n'amuyita n'amugamba nti: “Nkwegayiridde ndeeteraayo n'akatundu k'omugaati.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ng'agenda okugakima, n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo.