1 Kings 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amwanukula nti: “Mazima Omukama Katonda wo nga mulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obuwunga mu nsuwa n'otuzigo tutono mu nsumbi. Wuuno nkuŋŋaanyaayo ku buku ŋŋende eka nze ne mutabani wange twefumbirewo, tulye, tufe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, sirina mugaati okuggyako olubatu lw’obutta mu kibya n’otufuta mu kasumbi, era kaakano nkuŋŋaanya buku mbutwale eka neefumbire nze n’omwana wange tubulye tufe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba nnonderera obuku buno nnyingire nneefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'agamba nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wo omulamu, sirinaayo mugaati wabula olubatu lw'obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo, n'otuzigo mu kasumbi. Era nzuuno nnondererayo ku buku, ŋŋende eka, nneefumbire akamere, nze n'omwana wange tukalye, n'oluvannyuma tufe enjala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba, nsennya enku bbiri nnyingire neefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.