1 Kings 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti kino Omukama, Katonda wa Yisirayeli ky'agamba nti: ‘Ensuwa y'obuwunga teggweemu, n'ensumbi y'omuzigo teekalire, okutuusa ku lunaku Omukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kino Mukama Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Ekibya ky’obutta tekiriggwaamu, so n’akasumbi k’amafuta tekalikalira okutuusa olunaku Mukama lw’alitonyesa enkuba ku nsi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo ako tebujja kuggwaamu, n'ensumbi y'omuzigo tejja kukalira, nga Ye Mukama tannatonnyesa nkuba ku nsi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.