1 Kings 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensuwa y'obuwunga teyaggwaamu n'ensumbi y'omuzigo teyakalira, ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Eliya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabbo tekaggwaamu buwunga bwa ŋŋaano, n'akasumbi k'omuzigo tekaakalira. Ne biba nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.