1 Kings 17:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamwandu n'agamba Eliya nti: “Onjagaza ki ggwe omuntu wa Katonda? Wajja ewange onzijukize ekibi kyange, omwana wange omutte?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba Eriya nti Nfaayo ki eri ggwe, ggwe omusajja wa Katonda? wajja gye ndi okunjijukiza ekibi kyange n'okutta omwana wange!