1 Kings 17:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Omwana wo mumpe.” N'amumuggya mu mikono gye, n'amutwala mu kisenge ekya waggulu gye yasulanga, n'amugalamiza ku buliri bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriya n'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'amugamba nti: “Mpa eno omwana wo.” N'amuggya mu mikono gy'omukazi, n'amusitula n'amwambusa mu kisenge eky'omu kalinaabiri ye yennyini kye yasulangamu, n'amugalamiza ku kitanda kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.