1 Kings 17:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'awanjagira Omukama n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wange, n'omukazi nnamwandu we ngize nga mbeera omulabizza ennaku ng'otta omwana we?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eyegayirira Mukama, n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, otuusizza akabi ne ku nnamwandu ono ansuza, n'otta omwana we?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akaabira Mukama, n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?