1 Kings 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agalamira ku mwana bulambalamba emirundi esatu, nga bw'awanjagira Omukama nti: “Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, zza obulamu mu mwana ono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, n'eyegayirira Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu. N'akoowoola Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, nkwegayiridde omwana ono addemu obulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, z'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.