1 Kings 17:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'asitula omwana, n'amuggya mu kisenge ekya waggulu, n'amuserengesa mu nnyumba wansi, n'amukwasa nnyina nga bw'amugamba nti: “Omwana wo wuuno, mulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti Omwana wo wuuno mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti: “Omwana wo wuuno mulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'addira omwana n'amuserengesa ng'amuggya mu kisenge n'amuleeta mu nnyumba n'amuwa nnyina: Eriya n'ayogera nti Laba, omwana wo mulamu.