1 Kings 17:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agamba Eliya nti: “Kati ntegeeredde ddala nti oli muntu wa Katonda, n'ekigambo ky'Omukama ekiva mu kamwa ko kya mazima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kya mazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kyamazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano mmanyi ng'oli musajja wa Katonda, era ng'ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima.