1 Kings 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ebbanga ggwanvu, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Eliya mu mwaka ogwokusatu nti: “Genda weeyoleke Akabu, ndyoke ntonnyese enkuba ku nsi”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ebbanga lya myaka essatu kasookedde enkuba ebula, ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nti, “Genda weerage eri Akabu, omutegeeze nti nditonnyesa enkuba ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe wayitawo ennaku nnyingi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogwokusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ennaku eziwera, Mukama n'agamba Eliya, mu mwaka ogwokusatu ogw'ekyeya nti: “Genda weeyanjule ewa Ahabu. Nze nja kutonnyesa enkuba ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ennaku nnyingi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogw'okusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.