1 Kings 18:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima Omukama Katonda wo nga mulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy'atatumye ng'akunoonya. Eggwanga oba obwakabaka gye baayanukulanga nti: ‘Eno taliiyo,’ ng'abalayiza nti tebakusangangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo nga bw’ali omulamu, tewali ggwanga oba bwakabaka mukama wange gy’atatumye mubaka kukunoonya. Era buli ggwanga, oba bwakabaka obwagambanga nti toliiyo, yabalayizanga okukakasa nti tobangayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mazima ga Mukama Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti Tali wano, n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mazima ga Mukama, Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka, mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti: ‘Tali wano,’ n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, tewali ggwanga newakubadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya: awo bwe baayogeranga nti Tali wano, n'alayiza obwakabaka obwo n'eggwanga nga tebakulabye.