1 Kings 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe tunaamala okwawukana omwoyo gwa Katonda gujja kukutwala mu kifo gye simanyi. Bwe nnaagamba Akabu n'atakusanga, nze gw'anatta, sso ng'omuweereza wo yatya Omukama okuviira ddala mu buvubuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simanyi Mwoyo wa Mukama gy’anaakutwala nga kyenzije nveewo. Bwe nnaagenda ne ntegeeza Akabu n’atakusangawo, ajja kunzita, ate nga nze omuddu wo okuva mu buto bwange, nsinza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnaba nnaakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe n'atuuka ne ntegeeza Akabu n'atayinza ku kulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nnaaba naakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe naatuuka ne ntegeeza Ahabu n'atayinza kukulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olulituuka nga kyenjije nkuveeko kale omwoyo gwa Mukama gunaakutwala gye simanyi; kale bwe ndituuka ne mbuulira Akabu n'atayinza kukulaba, alinzita: naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva mu buto bwange.