1 Kings 18:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama wange, ggwe tomanyanga kye nakola luli Yezebeli lwe yali atta abalanzi b'Omukama, nga ku balanzi b'Omukama bwe nakwekako kikumi mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, ne mbawanga emmere n'amazzi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama wange totegeezebwanga, kye nakola nga Yezeberi atta bannabbi ba Mukama? Nakweka kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli mpuku, era ne mbawa emigaati okulya n’amazzi okunywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama wange, teebakubuulira kyennakola, Yezeberi bwe yali nga atta bannabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi (100) ku bannabbi abo, ataano ataano mu mpuku, ne mbaliisizzanga eyo emigaati n'amazzi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama wange, tebaakubuulira kye nakola, Yezebeeli bwe yali atta abalanzi ba Mukama, nga bwe nakweka abasajja kikumi ku balanzi ba Mukama abo, amakumi ataano ataano mu mpuku, ne mbawanga emmere n'amazzi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tekibuulirwanga mukama wange kye nnakola, Yezeberi bwe yatta banaabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi ku bannabbi ba Mukama mu mpuku ataano ataano, ne mbaliisa emigaati n’amazzi?