1 Kings 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate kati ggwe oŋŋamba nti: ‘Genda ogambe mukama wo nti: “Eliya ali wano.” ’ Ajja kunzita.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, oŋŋamba ŋŋende ewa mukama wange mugambe nti, ‘Eriya ali wano.’ Ajja kunzita!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano oŋŋamba nti Genda otegeeze mukama wo nti Eriya ali wano: kale ajja kunzitta!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano n'oŋŋamba nti: ‘Genda otegeeze mukama wo nti Eliya wuuno ali wano!’ Ajja kunzita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano oyogedde nti Genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya aliwano: kale ananzita.