1 Kings 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'agamba nti: “ Mazima Omukama w'Amagye nga mulamu, gwe mpeereza, nzija kweraga Akabu olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’amugamba, “Nga Mukama ow’Eggye bw’ali omulamu, gwe mpeereza, siireme kweraga eri Akabu leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gw'empeereza, siireme kweraga gyali leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya nagamba nti: “Mu mazima ga Mukama Omulamu ow'Obuyinza gwe mpeereza, siireme kweyanjula wa kabaka olwaleero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gwe nnyimiririra mu maaso ge, siireme kweraga eri ye leero.