1 Kings 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale kati tuma, okuŋŋaanye Yisirayeli yenna bansisinkane ku lusozi Karumeli, ssaako n'abalanzi ba Baali ebikumi bina mu ataano, n'abalanzi ba Asera ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezebeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kuŋŋaanya abantu bonna okuva mu Isirayiri yonna bajje ku lusozi Kalumeeri era oleete ne bannabbi ba Baali ebikumi ebina mu ataano wamu ne bannabbi ba Baaseri ebikumi ebina, abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano tumira Abaisiraeri bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku lusozi Kalumeeri, n'abalaguzi Babaali ebina mu ataano (450), n'aba Asera ebina (400), abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, tumira Abayisirayeli bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku Lusozi Karumeeli, n'abalaguzi ba Baali ebikumi ebina mu ataano, n'aba Asera ebikumi ebina, abaliira ku lujjuliro lwa Yezebeeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno tuma okuŋŋaanyize gye ndi Isiraeri yenna ku lusozi Kalumeeri ne bannabbi ba Baali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Baaseri ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi.