1 Kings 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'asembera eri abantu bonna, n'agamba nti: “Munaatuusa wa okwebuukiza wakati w'enkulu ebbiri? Oba Omukama ye Katonda, mumugoberere, oba Baali, mumugoberere.” Abantu ne batabaako kye bamwanukula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.” Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n'ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'ajja eri abantu abo bonna, n'agamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, gwe muba musinza. Kyokka oba Baali ye Katonda, kale gwe muba musinza.” Naye abantu ne batamuddamu kigambo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n’ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.