1 Kings 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'agamba abantu nti: “Nze nzekka nze mulanzi w'Omukama asigaddewo, naye abalanzi ba Baali bali abasajja bikumi bina mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’abagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi Babaali bali abasajja bina mu ataano (450).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'agamba abantu nti: “Nze mulanzi wa Mukama nzekka asigaddewo, naye abalaguzi ba Baali bali ebikumi bina mu ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi ba Baali abasajja ebikumi bina mu ataano.