1 Kings 18:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo mukoowoole erinnya lya lubaale wammwe, nange nzija kukowoola erinnya ly'Omukama; anaayanukula n'omuliro, ng'oyo ye Katonda.” Abantu bonna ne baanukula nti: “Oyogedde bulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bannabbi Babaali mwegayirire katonda wammwe, nange nja kwegayirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mukoowoole lubaale wammwe, nze nja kukoowoola Mukama. Kale oyo anaddamu n'aweereza omuliro, nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti: “Ky'ogambye kirungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mmwe mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, nange naakaabirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.