1 Kings 18:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'agamba abalanzi ba Baali nti: “Mmwe muba musooka okweronderamu ente emu, kubanga mmwe bangi, mugitegeke; mukoowoole erinnya lya lubaale wammwe; naye temukuma muliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’agamba bannabbi ba Baali nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'agamba bannabbi Babaali nti Mulondeeko ente eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mwegayirire katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'agamba abalaguzi ba Baali nti: “Mulondeko ente emu eneeba eyammwe. Mmwe muba musooka okubaaga, kubanga muli bangi. Mukoowoole lubaale wammwe, kyokka temukoleezaako muliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'agamba bannabbi ba Baali nti Mweroboze ente emu okuba eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi.