1 Kings 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddira ente gye yali abawadde, ne bagitegeka. Ne bakowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ayi Baali, tuwulire.” Naye nga teri kanyego, teri ayanukula. Ne bazina nga beebuukiza okwetooloola omwaliiro gwe baali bakoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka. Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne beegayirira Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ayi Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuukirabukira awali ekyoto kye baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalaguzi ba Baali ne batwala ente gye baaweebwa, ne bagibaaga. Ne bakoowoola lubaale Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ayi Baali, otwanukule.” Kyokka ne wataba ddoboozi, wadde addamu n'omu. Ne bazina nga babuukirabuukira awali alutaari eyakolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne bakaabirira erinnya lya Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ai Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuuka awali ekyoto ekyakolebwa.