1 Kings 18:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwatuuka mu ttuntu Eliya n'abakudaalira ng'abagamba nti: “Muleekaane okusingawo! Anti lubaale! Oboolyawo alina bingi ebimulabankanyizza, oba atawuka nnyo, oba ali mu lugendo! Akyayinza okuba nga yeebase nga yeetaaga kuzuukusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ssaawa ez’omu ttuntu Eriya n’atandika okubaduulira, ng’ayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira ng'abagamba nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba agenze kwetewuluzaako, oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase nga kyetaagisa okumuzuukusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ttuntu, Eliya n'abakudaalira n'agamba nti: “Mukoowoole nnyo, anti lubaale. Yandiba ng'aliko ky'afumiitiriza, oba ng'agenze kweteewuluzaako, oba ng'aliko gy'alaze mu lugendo. Ayinza n'okuba nga yeebase, nga kyetaagisa kumuzuukusa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'ayogera nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba akyamye oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase, kigwanidde okumuzuukusa.