1 Kings 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettuntu ne liggwaako nga bali mu ebyo eby'okulanga ne batuusa ku budde obw'ekitambiro eky'akawungeezi. Naye tewaali ddoboozi, tewaali ayanukula, tewaali kanyego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balekanira waggulu nga abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettuntu bwe lyamenyeka, ne baleekaana ng'abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi. Naye ne watabaawo kanyego, wadde abaanukula n'omu, oba abafaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balagula okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.