1 Kings 18:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'agamba abantu bonna nti: “Mujje we ndi.” Abantu bwe baasembera, n'ategeka omwaliiro gw'Omukama ogwali gwonooneddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kimenyesemenyese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'agamba abantu bonna nti: “Musembere we ndi.” Abantu bonna ne basembera w'ali. N'azimba buggya alutaari ya Mukama eyali emenyeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa.