1 Kings 18:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddira amayinja kkumi n'abiri, omuwendo gw'ebika by'abaana abava mu Yakobo, beebo Omukama mu kigambo kye be yayogerako nti: “erinnya lyo liriba Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri (12) ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atwala amayinja kkumi n'abiri, ng'omuwendo bwe guli ogw'Ebika by'abasibuka mu Yakobo, Yakobo oyo Mukama gwe yagamba nti: “Erinnya lyo onooyitibwanga Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.