1 Kings 18:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira amayinja, n'azimbisa omwaliiro mu linnya ly'Omukama, n'akola olusalosalo okwetooloola omwaliiro nga lujjula seya bbiri ez'ensigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwalwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amayinja ago n'agazimbisa alutaari ey'okusinzizaako Mukama. N'asima olusalosalo okugyetoolooza, olugyamu ensuwa nga bbiri ez'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwa lwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo.