1 Kings 18:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ategeka enku, ente n'agitemaatema ebiyingula, n'abissa ku nku. N'abagamba nti: “Ensuwa nnya muzijjuze amazzi, mugayiwe ku kitone eky'okwokya ne ku nku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'abagamba nti mujjuze amapipa ana (4) amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atindikira enku ku alutaari, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku ezo. N'agamba nti: “Mujjuze ensuwa nnya amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ne ku nku.” Ne bakikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'ayogera nti mujjuze amapipa ana amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.