1 Kings 18:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayongera n'agamba nti: “Mwongereeyo n'ogwokubiri;” ne bongerayo ogwokubiri. N'abalagira nti: “Mwongereeyo ogwokusatu;” ne bongera ogwokusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abagamba nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokusatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri.” Ne bakikola. Era n'agamba nti: “Mukole bwe mutyo n'omulundi ogwokusatu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogw'okusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogw'okusatu.