1 Kings 18:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwatuuka obw'okuweereza ekitambiro, Eliya omulanzi n'asembera, ne yeegayirira nti: “Ayi Mukama Katonda wa Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli, olwa leero yoleka nga ggwe Katonda mu Yisirayeli, nange nga nze muweereza wo, nga na bino byonna mbikoze ng'ondagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi bwe kyatuuka, Eliya omulanzi n'asemberera alutaari, n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka ne Yasirayeli, olwaleero ka kimanyibwe nga Ggwe Katonda mu Yisirayeli, era nga nze ndi muweereza wo, era nga nkoze bino byonna nga Ggwe ondagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.