1 Kings 18:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nziraamu, ayi Mukama; nziraamu, abantu bano bayige nti: ayi Mukama, oli Katonda, ogezaako okukyusa emitima gyabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpulira, ayi Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gyoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyanukula, ayi Mukama, nnyanukula, abantu bano balyoke bamanye nga Ggwe, Mukama, Ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gy'oli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpulira, ai Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe, Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okuddayo.