1 Kings 18:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna bwe baakiraba, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe, ne bagamba nti: “Omukama ye Katonda! Omukama ye Katonda!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “ Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna bwe baalaba ekyo, ne bavuunama, ne bagamba nti: “Mukama ye Katonda! Mukama ye Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama amaaso gaabwe: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.