1 Kings 18:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezebeli bwe yali atta abalanzi b'Omukama, Obadiya yaddira abalanzi kikumi n'abakweka mu mpuku bbiri, ataano ataano buli mpuku, n'abawanga emmere n'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwali olwo nga Yezeberi atandika okutta bannabbi bonna aba Mukama, Obadiya n’addira bannabbi kikumi n’abakweka mu mpuku bbiri buli emu ng’erimu amakumi ataano ataano, n’abaweeranga omwo emmere n’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi (100) n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yezebeeli bwe yali ng'atta abalanzi ba Mukama, Obadiya yatwala abalanzi kikumi, n'abakweka, ataano ataano mu mpuku, n'abafuniranga emmere n'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.)