1 Kings 18:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'abagamba nti: “Mukwate abalanzi ba Baali; temuganya n'omu kudduka.” Bwe baabakwata, Eliya n'abatwala mu Kiwonvu Kisoni, n'abasanjagira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi Babaali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'abagamba nti: “Mukwate abalaguzi ba Baali, waleme kutolokako n'omu!” Ne babakwata. Eliya n'abaserengesa ku kagga Kisoni, n'abattira eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi ba Baali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.