1 Kings 18:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu n'agenda alye, anywe. Ye Eliya n'alinnya ku ntikko ya Karumeli, n'afukamira ku ttaka, omutwe n'agussa mu maviivi ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akabu n’agenda okulya n’okunywa, naye Eriya n’alinnya ku ntikko y’olusozi Kalumeeri, n’akutama, n’ateeka omutwe gwe wakati w’amaviivi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabu n'agenda okulya n'okunywa. Eriya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'agenda okulya n'okunywa. Eliya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu n’agolokoka okulya n'okunywa. Eriya n'alinnya ku ntikko y'e Kalumeeri; n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.