1 Kings 18:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba omuweereza we nti: “Genda olengere ku nnyanja.” N'agenda, n'alengera, n'agamba nti: “Teri kantu.” Eliya n'amulagira emirundi musanvu nti: “Ddayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba omuweereza we nti, “Yambuka, olengere okwolekera ennyanja.” Omuweereza n’agenda n’alaba n’akomawo n’amugamba nti, “Teri kye ndabyewo.” Eriya n’amugamba addeyo emirundi musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Ddayo nate emirundi musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba omuweereza we nti: “Genda olengere ku ludda lw'ennyanja.” Omuweereza n'agenda, n'alengera, n'agamba nti: “Tewali kantu.” Eliya n'amugamba nti: “Ddayo emirundi musanvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Genda nate emirundi musanvu.