1 Kings 18:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku gwomusanvu, omuweereza n'amugamba nti: “Kati eriyo akale akatono ng'omukono gw'omuntu, kasituka mu nnyanja.” N'agamba nti: “Genda ogambe Akabu nti: ‘Tandiika ekigaali kyo okkirire ng'enkuba tennakukwata.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mulundi ogw’omusanvu omuweereza n’akomawo n’agamba nti, “Laba, ekire ekitono ekyenkana ng’omukono gw’omuntu kyambuka okuva mu nnyanja.” Eriya n’amugamba nti, “Genda ogambe Akabu nti, ‘Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba nga tennakuziyiza.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mulundi ogw'omusanvu, omuweereza n'agamba nti: “Akale akatono ng'ekibatu ky'omuntu, kaakano kambuka nga kava mu nnyanja.” Eliya n'agamba omuweereza we nti: “Genda ogambe Kabaka Ahabu nti: ‘Yingira mu ggaali lyo, oddeyo eka, enkuba ereme kukuziyiza.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu, n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.