1 Kings 18:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukono gw'Omukama ne gujja ku Eliya, n'asiba ekimyu mu kiwato, n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuukira ddala e Yezureeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaanyi ga Mukama ne gakka ku Eriya ne yeesiba ekimyu, n’adduka ng’akulembedde Akabu okutuuka e Yezuleeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'awa Eriya amaanyi ag'enjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuuka awayingirirwa e Yezuleeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Eliya amaanyi agenjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Ahabu okutuuka awayingirirwa e Yezireeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukono gwa Mukama ne guba ku Eriya; ne yeesiba ekimyu n'addukira mu maaso ga Akabu okutuusa awayingirirwa e Yezuleeri.