1 Kings 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Akabu n'agamba Obadiya nti: “Yitaayita mu nsi, ku nzizi zonna ne mu biwonvu byonna. Oboolyawo tunaasobola okusangayo ku muddo tuwonye embalaasi n'ennyumbu, tuleme kutta ku bisolo byaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabu n’amugamba nti, “Tuuka buli wantu awali enzizi ez’amazzi n’awali obugga bwonna, oboolyawo tunaafuna omuddo ne tuwonya embalaasi zaffe n’ennyumbu okufa, tuleme okufiirwa ensolo zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda otuuke ku nzizi zonna n'obugga bwonna: oboolyawo tulizuula omuddo ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'agamba Obadiya nti: “Genda otuuke ku nzizi zonna ez'amazzi, ne ku bugga bwonna mu nsi eno, mpozzi twandizuulayo omuddo, ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa, tuleme kubaako nsolo ze tufiirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda obune ensi eri enzizi zonna ez'amazzi n'eri obugga bwonna: mpozzi tuliraba omuddo netuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.