1 Kings 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obadiya aba ali mu kkubo, Eliya n'amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera, n'amuvunnamira, n'agamba nti: “Ddala ggwe mukama wange Eliya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Obadiya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe, Eriya n’amusisinkana. Obadiya bwe yamutegeera n’avuunama wansi n’agamba nti, “Ddala ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eriya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'abuuza nti Ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eliya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'agamba nti: “Ggwe wuuyo, mukama wange Eliya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Obadiya ng'ali mu kkubo, laba, Eriya n'amusanga: n'amumanya n'avuunama amaaso ge n'ayogera nti Ggwe wuuno, mukama wange Eriya?