1 Kings 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Ntakabanidde Omukama Katonda w'Amagye, kubanga abantu ba Yisirayeli baabulidde endagaano yo, emyaliiro gyo bagimenyeewo, n'abalanzi bo babasse n'ekitala; nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange bannoonya okunzita.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'addamu nti: “Nnumirwa nnyo ekitiibwa kyo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye, kubanga Abayisirayeli bamenye endagaano gye wakola nabo, bamenyeewo zaalutaari zo, era basse abalanzi bo, nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange baagala okunzita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.