1 Kings 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Fuluma, yimirira ebweru ku lusozi mu maaso g'Omukama kubanga Omukama ajja kubeera ng'ayitawo.” Ne wajja kibuyaga omungi ow'amaanyi, n'alyebula ensozi, n'ayasayasa enjazi mu maaso g'Omukama; naye Omukama teyali mu kibuyaga. Nga kibuyaga ayise, ne wajja musisi; naye Omukama teyali mu musisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.” Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso gange. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Fuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso gange.” Olwo Mukama n'ayitawo, embuyaga ey'amaanyi n'emenya ensozi, era n'eyasa enjazi ng'emukulembeddemu, kyokka Mukama nga tali mu mbuyaga. Embuyaga bwe yamala okuyita ne wabaawo okukankana kw'ensi, kyokka Mukama nga tali mu kukankana kwa nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi: