1 Kings 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musisi bwe yakoma, ne wajja omuliro; naye Omukama teyali mu muliro. Omuliro nga guyise, ne wabaawo akaloboozi akatono akasiiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukankana kw'ensi bwe kwakoma, ne wabaawo omuliro, kyokka era Mukama nga tali mu muliro. Omuliro bwe gwavaawo, ne wabaawo akaloboozi akatono ak'ekimpowooze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.