1 Kings 19:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya olwakawulira, n'abikka amaaso ge n'omunagiro, n'afuluma, n'ayimirira ku mulyango gw'empuku. Eddoboozi ne limugamba nti: “Eliya, okola ki wano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya bwe yaliwulira, n’abikka amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku. Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limubuuza nti Okola ki wano, Eriya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Okola ki wano, Eliya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Eriya bwe yaliwulira, ne yeebikka amaaso ge mu munagiro, n'afuluma n'ayimirira mu mulyango gw'empuku. Kale, laba, ne wamujjira eddoboozi, ne lyogera nti Okola ki wano, Eriya?